Amawulire
Poliisi erabudde eb’enganda za Kaweesi ku byokweyingiza mu bye nfa ye
Bya Sam Ssebuliba
Poliisi erabudde abamu ku benganda z’omugenzi Andrew Felix kaweesi nga ono yeyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga okukomya okweyingiza mu kunonyeereza kwa poliisi ku kutibwa kw’omuntu waabwe.
Okusinziira ku poliisi abenganda mu kujjukira omugenzi baakunganye nga 17 Omwezi guno nebatandika okusonga ennwe mu bakulu ba poliisi abamu nti bebaali amabega w’okutta Kaweesi.
Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero, eyasikira Kaweesi nga kati ye mwogezi wa poliisi Assan Kasingye ategezezza nti abamu ku bantu bano banenya poliisi okukwata abantu abakyamu sso nga bbo basooka kukola kunonyerza nga tebanakwata Muntu yenna.
Kasingye katia sabye aba Kaweesi okuyamba poliisi okuzuula abatemu bave mu byokujivumirira .
Omugenzi Kaweesi yattibwa mu March 17 omwaka guno bweyali ava mu makage e Kulambiro.