Ebyobulamu

Abakyala abaavu bafa mangu

Ali Mivule

September 4th, 2013

No comments

women in poor countries

Abakyala ababeera mu mawanga agaakula edda balina emikisa gy’okuwangaala okusinga banaabwe mu mawanga amaavu

Ab’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu bagamba nti abakyala batono mu mawanga agakyakula abasukka emyaka ataano.

Kino kiva ku ndwadde ezibaluma ezitaggwa omuli n’ezo ezitalina kuba za bulabe

Ekibiina kino kigamba nti walina okubaawo ebikolebwa ebya mangu okulaba nti abakyala bakoma okufa mu ngeri ye kyeyononero.

Ekyewunyisa nti ebimu ku bitta abakyala mwemuli okuzaala .

Mu Uganda abakyala 16 beebafa buli lunaku nga bazaala