Amawulire
Ab’eddwaliro lye Naguru bakooye abalekaana
Abakungu ku ddwaliro lye Naguru wano mu Kampala bemulugunyizza ku kuwoggana okususse okuva eri abali kumpi n’eddwaliro lino ekimazeeko emirembe abalwadde n’abasawo n’okusingira ddala abaana ababa baakazalibwa.
Akulira eddwaliro lino mu kitundu kino Gorret Tibifumuru agamba yadde nga balina ebizibu bingi gamba nga ebitanda ebitamala n’eddagala ettono, okuwoggana kususse.
Anyonyodde nti kino kivuddeko abakyala bangi okuzaala abaana abatanatuuka kale nga wasanye wabeewo ekikolebwa.