Amawulire
Okulonda abakulembeze abafikkira kwakumalawo obuwumbi 5
Akakiiko k’ebyokulonda kakusasanya obuwumbi obuli eyo mu 5 okutegeka okulonda kw’obukiiko bwa gavumenti ez’ebitundu obwasigalira mu kulonda okwakaggwa.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Badiru Kiggundu agamba okulonda ku mitendera egyenjawulo kwakutandika nga 17 May kukomekerezebwe nga 31 May nga era bassentebe bazidisitulikiti wamu n’amagombolla abasigalira mwebagenda okubalondera mu disitulikiti 109.
Okulonda kuno kwakubeera mu bifo okulonda wekwayiika olw’obuvuyo, oba nga eyali yeaimbyewo y’afa.