Amawulire
Muyimirize okuwandiisa abaziyiza emisango- Balwanirira ddembe
Ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu bitadde gavumenti ku ninga eyimiriza mangu eby’okutendeka abaziyiza emisango abamanyiddwa nga ba Crime Preventers nga eggwanga lyetegekera akalulu k’omwezi ogujja.
Ebibiina bino okuli ekya Amnesty International, Human Rights Watch, Human Rights Network Uganda, Chapter Four Uganda, ne Foundation for Human Rights Initiative bitegezezza nti kino kisanye okukolebwa okwewala obutabanguko mu biseera by’okulonda.
Bano bagamba nti kino era kyakulaga nti ddala teri kyekubirira mu kulonda nti era gavumenti essa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu.
Ab’ebibiina bino bategezezza nga yadde nga bano batendekebwa kukola gwabwanakyewa, bekubira nyo eri ekibiina kya NRM olwo nebatulugunya abavuganya n’okujja ssente ku bantu mungeri ey’olukujjukujju.
Ssabanonyeerza mu kibiina kya Human Rights Watch Maria Burnett agamba bano balina butabaamu kyekubirira nga batendekeddwa mungeri ey’ekikugu nga basobla okuneneyezebwa ku nsobi zebakola.