Amawulire

Masaka municipaali y’esinze mu bigezo by’ekyomusanvu

Masaka municipaali y’esinze mu bigezo by’ekyomusanvu

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

File Photo: Abayizi nga bakoora ebigeezo

File Photo: Abayizi nga bakoora ebigeezo

Municipaali ye Masaka y’enywedde mu municipaali zonna akendo okukola obulungi mu bigezo by’eky’omusanvu ebifulumiziddwa.

Municpaali eno eyisizza abayizi abaweza ebitundu 50 ku kikumi mu ddaala erisooka.

Masaka eddiriddwa Mukono eyisizza bayizi abaweza ebitundu 39 ku kikumi mu ddaala erisooka ne kuddako Bushenyi ne Mbarara ku bitundu 38 ku kikumi.

Abalala abakoze obulungi mulimu aba municipaali ye Kabale ne Fortportal.

Ate bwetudda mu zi disitulikiti, Kampala y’esinze nekuddako Entebbe ne Wakiso.

Mu baakoze obubi kuliko Amudat ng’ebadde n’omuyizi omu ayitidde mu ddaala .

Endala ezikoze obubi kuliko Bukwo, Maracha, Lamwo, Nakapiripirit ne Napak.

Yye minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo agamba nti abayizi mu bibuga bakyakola bulungi okusinga ababeera mu byaalo.

Kino bakitadde ku bbula ly’abasomesa, ebikozesebwa mu masomero n’embeera z’abantu okutwaliza awamu.