Amawulire
Omusirikale yekubye essasi
Omusirikale yekubye essasi bw’abadde agezaako okutangira abasibe okutoloka.
Costable Muzamiri Abinyu omusirikale ku polisi ye Kabalagala yekubye esaasi mu kugulu bw’abadde aggalira abamu ku bateberezebwa okuba ku kibinja kya bakifeesi ababadde basuza abatuuze be Kabalagala nga batudde.
Abinyu agamba okwekuba esaasi abasibe basambye oluggi nebalumenya era mu kugezaako okubatayiiza, tamanyi bweyanyize mmundu neyekuba essasi.
Mu kiseera kino awereddwa ekitanda mudwaliro e mulago asobole okufuna obujanjabi.