Amawulire

Tekinologiya ayambye nnyo abayizi okukola obulungi

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo ategezezza nga abayizi okweyongera okwewandiisa  bwekivudde ku nkozesa ya tekinologiya wa compyuta okuwandiisa abayizi bano.

Alupo atenderezza nyo enkola ya bonna basome evuddemu abayizi abangi bwebati abayise era n’akubiriza abazadde okwongera okweyunira amasomero gano.

Ono avumiridde abazadde abakuumira abaana baabwe ewaka nebadda mu kuvuba n’okusiika amandaazi mu bisera by’okusoma.

Minsita agambye nti abaana banji bayingira P1 wabula nebatamalaako kyamusanvu nga era nwegutuuka ku kwewandiisa bangi nebawanduka.

Nga oyagala okumanya engeri gyewakozemu ebigezo bino genda mu bubaka bw’essimu yo owandiike ekigambo PLE olekewo akabanga owandiike Index number yo osindike ku 6600.