Amawulire

Abavubuka babigudde

Abavubuka babigudde

Ali Mivule

January 11th, 2016

No comments

File Photo: Abavubuuka nga bogeerako eri banamawulire

File Photo: Abavubuuka nga bogeerako eri banamawulire

Waliwo ebibinja by’abavubuka 3 ebitiisiza okukolawo akatiisa singa poliisi teleeta mangu akulira eby’okwerinda by’eyesimbyewo ku bwa pulezidenti Amama Mbabazi.

Nga boogerako nebamamawulire amakye galeero , ebibinja bino okuli ekya Jobless brotherhood, Sauti ya Vijana, n’aba  Uganda poor Youth movement  bategezezza nga bwebagenda okukunganya emikono gy’abavubuka banaabwe akakadde kalamba bagikwange palamenti okutuuza olutuula olw’enjawulo okulaba nga Aine aleetebwa oba mufu nakyo bakimanye.

Akulira ekibinja kya Jobless brotherhood Norman Muhimbise agamba bakukunganya emikono mu nnaku enya oba ettaano eziddako olwo balumbe palamenti.

 

Era no mu lukungaana lwelumu, taata wa Aine omuto Duncan Muramuzi ategezezza nga bbo ab’enyumba ya Aine bwebali abanakuwavu nga tebamanyi oba omwana waabwe mulamu oba mufu.

Agambye kati bateekateeka kupangisa abanonyereza ku misango abaabwe okumanya amayitire ga Aine.