Amawulire
Aba FDC batabuse e Lubaga
Ab’ekibiina kya FDC abaagala ekifo kya ssentebe w’egombolola ye Lubaga buli omu agaanye okulekera munne era bonna balemedde mu lwokaano.
Amyuka pulezidenti w’ekibiina kino mu Buganda Joyce Nabbosa SSebugwaawo ne John Kikonyogo bonna bagyeyo empapula zokusunsulibwa nga mukiseera kino Nabbosa ye ssentebe.
Kikonyogo agamba alinze akamyufu k’ekibiina ku kifo kino n’abikoowa kwekusalawo okwesimbawo nga atalina kibiina.
Agamba bangi babadde bamusaba alekere Nabbosa ye ky’aganye.
Kawefube w’okufuna omwogezi w’ekibiina kino okubaako nekyayogera agudde butaka.