Amawulire
Abavuganya tebannaba kukkaanya
Ensisinkano wakati w’akakiiko k’ebyokulonda n’abasunsuddwa okwesimbawo ku bwapulezidenti ekomekerezeddwa awatali kyamaanyi kikkanyiziddwako ku byakampeyini .
Okugyako ab’ekibiina kya FDC abategezezza nti enkungaana zaabwe bakuzitandikira Mbale, abesimbyewo abalala babadde tebannamaliriza nteekateeka zaabwe.
Enkambi ya Amama Mbabazi eya Go- forward ekulembeddwamu Solome Nakaweesi bategezezza nga bwebakyamaliriza enteekateeka sso nga bbo ab’ekibiina kya NRM bakiikiriddwa Moses Byaruhanga ne Edwin Karugire.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Taremwa agamba bakkiriziganyizza n’abesimbyewo nti kampeyini zirina kutandika ku ssaawa 2 ez’okumakya zikomekerezebwe ku ssaawa 12 ezakawungezi.
Taremwa agamba bakuddamu okusisisnkana abesimbyewo olunaku olwenkya okulaba nga tebakubagaana mu biseera bya kampeyini.
Ye omukyala yekka eyesimbyewo ku bwa pulezidenti Faith Maureen Kyalya Walube yetuukidde nga abalala bonna bakikiriddwa.
Abantu 8 bebesimbyewo okuli pulezidenti Museveni Dr Kiiza Besigye, Amama Mbabazi, Prof Venasuis Baryamureeba, Dr Abed Bwanika, Maj Gen Ben Biraaro, Joseph Mabirizi wamu ne Faith Maureen Kyalya Walube.