Amawulire

Buganda afunye obuyambi

Ali Mivule

August 1st, 2013

No comments

MTN donates

Ng’enteekateeka z’amatikkira ga Ssabasajja  zigenda mu maaso, amakampuni agenjawulo gawaddeyo ebintu ebigenda okukozesebwa ku mukolo guno.

Kampuni ya MTN olwaleero eyunze ekizimbe kya Twekobe ku mutimbagano gwa internet egenda okukozesebwa ku mukolo.

Bo aba kampuni ya coca cola bawaddeyo soda ne box z’amazzi 5000 eri akakiiko akateesiteesi.

Ssentebe w’aKakiiko kano era nga ye speaker w’olukiko Nelson Kawalya asimye nyo amakampuni gano, nasaba amalala okudduukirira Obuganda.