Amawulire
Ekiriiro kya UCHUMI kiggaddwa- Bujama
Ekitongole kya Kampala capital city authority kiggaddewo ekifo awaliirwa Uchumi supermarker esangibwa ku Garden City
Obuzibu bwonna buvudde ku bujama
Ekifo ekiggaddwa wewali ebiyungu n’awaliirwa emmere
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agambye nti aba UCHUMI babawadde ebbaluwa ezibalabula naye nga tebenyeenya kwekusalawo okubaggala
Bbo abatwala UCHUMI wetwogerera nga bali mu kafubo era nga bakuvaayo nekiwandiiko akadde konna