Amawulire

Aba Crest Foam bavuddemu omwasi

Ali Mivule

March 12th, 2015

No comments

Crestfoam fire

Kyaddaki abakulira ekkolero ly’emifaliso bavuddemu ekigambo ku muliro ogwakwata ekkolero lyabwe nemufiiramu abantu 6.

Bano bategezezza nga eby’okuliyirira abafiiriddwa abaabwe mu muliro bwebijja okukolebwako nga alipoota ya poliisi ku muliro guno emaze okufuluma.

 

Mu nsisinkano gyebabaddemu ne minisita w’eby’obusubuzi  Amelia Kyambadde, akulira kampuni ya Crest Foam  Roseline Kateeba ategezezza nga nabo bwebanyoleddwa wamu olw’okufa kw’abantu bano.

 

Kateeba ategezezza nga ekkolero lyabwe bwebaliwandiisa mu yinsuwa nga essaawa yonna bakuliyirira abaakoseddwa.

Ono wabula yeganye ebigambibwa nti ekkolero teryaliko miryangi giyitibwamu nga omuliro gukutte nga era abakozi baabwe bazze batendekebwa ku ngeri y’okwewalamu obubenje.

 

Abantu 6 bafiira mu muliro ogwakwata ekkolero lya Crest Foam wali e Ntinda ku lunaku lwa balaza.