Amawulire
Abayizi be Makerere batabuse- mutuwe ssente zaffe
Abakulembeze b’abayizi ne ssenkulu w’ettendekero ly’e Makerere besozze akafubo oluvanyuma lw’abayizi okwekalakaasa.
Abayizi amakya galeero bakedde kwekalakaasa olw’etteeka ly’okumalayo ebisale byonna mu wiiki 6 ezisooka nga olusoma lwakatandika nga n’abasasulirwa gavumenti bemulugunya ku nsako yabwe okulwawo okubaweebwa.
Wabula amyuka ssenkulu w’ettendekero lino ategezezza nga ye bwagoberera amateeka geyasangawo nga tanatwala kifo kino.
Dumba ategezezza nga ezimu ku nsimbi z’abayizi bano bwezaweebwayo okugulira abayizi ebitabo ku massomero gaabwe n’ebirala ebyetagisa.
Wabula asuubizza okutunula mu nsonga eno.