Amawulire
Ekidyeri kya MV Kalangala kizzemu okukola
Ssanyu gyerere eri abatuuze n’abasuubuzi ku kizinga ky’e Kalangala oluvanyuma lw’ekidyeri kyabwe ekya MV Kalangala okuddamu okukola.
Ekidyeri kino kyaali kyaafa kati omwaka ogusukka mu mulamba nga kibadde kiddabirizibwa ku mwalo gwe Mwanza mu ggwanga lya Tanzania.
Omwogezi wa minisitule y’ebyentambula Susan Kataike agamba basobodde okukikanika nga kati kikolera ddala bulungi
Kataike alina esuubi nti ebyentambula byakutumbulwa nga kwogasse n’ebyobusuubuzi.