Amawulire
Palamenti tekoze bulungi mirimu- Abantu
Alipoota afulumiziddwa ebibiina b’obwa nakyeewa eraga nti ababaka ba palamenti tebakoze mulimu gwaabwe ogw’okulondoola ebikolebwa gavumenti
Alipoota eraga nti bannayuganda abaweza ebitundu 18.6 ku kikumi bagamba nti ababaka bebalondoola nsansaanya ya gavumenti naddala abakulu mu gavumenti ne wofiisi zebatuulamu
Alipoota era eraga nti abantu ebitundu 50.4 ku kikumi balowooza nti ababaka bafuna omusaala munene nnyo bw’ogerageranya n’emirimu gyebakola
Mu ngeri yeemu abantu bagaala ababaka abakiikirira abantua benjawulo okugeza, abavubuka, abakyala n’abalema okuva mu palamenti okusobola okukendeeza ku bungi bw’ababaka
Omukulu mu mukago gw’ebibiina by’obwa nakyeewa ekya NGO forum Job Kaija agamba nti era abantu bagaala sipiika n’omumyuka we babeere nga tebalina bifo byebakikiirira okusobola okwetongola mu kukubiriza enkiiko
Alipoota eno etongozeddwa omubaka Paul Mwiru ku lwa sipiika Rebecca Kadaga