Amawulire

Temwemulugunya nga mugaana okulonda- Kadaga

Ali Mivule

September 15th, 2014

No comments

Kadaga

Nga Uganda yegatta kunsi yonna okukuzza olunaku lwa Democracy mu Uganda, abalonzi balabudwa okwevuma abakulembe bebalina, songa benyini bebagaana okwenyigira mukulonda.

Kuno okulabula kukoledwa speaker wa uganda , Rebecca Kadaga bwabade agulawo emikolo  emikulo egy’okukuzza olunaku luno.

Kadaaga akaladde, nategeeza nga abalonzi bwebatasaana kudamu kunyega ku nsonga  z’abakulembeze abatatuukirizza mirimo gyabe, songa benyini bwebatuuka mukadde k’okulonda tebalabikako.

Ono yoomu ategeezeza nga government okulwaawo okuleeta enongoserezza mumateeka gokulonda bwekigenda okuleetwo okubusabuusa kubwebkana obusuubirwa mukulonda kwa 2016