Olwali

omubbi agudde mu kitimba

Ali Mivule

April 2nd, 2013

No comments

thief smashes

Omubbi abadde ava okukwakkula akasawo k’omukazi mu dduuka munda mu ggwanga lya Australia  akigudeko.

Olumaze okubba , sempala ono amasuse  wabula naagwa mundabiraamu ezimukubye ekigwo ye zaaabadde ayita omulyango.

Dala Kabwa kabbi  kagumya mugongo  kubanga obulumi tabuwulidde bwasituseewo neyeeyongerayo aleme kukwaatibwa.

Abaduukirize basoose kumuyoolayoola nga tebamanyi nti mubbi, era olusituse nateekako kakokola tondeka nyuma naamalamu omusubi.

Omusazi wensawo ono kamera zimulaze nga atonyolokoka  wabula nga tafaayo yeyongera kudduka.

Police yo yatandise dda okuwenja omubbi ono eyasizza abantu enseko.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *