Olwali

Bazadde ba Gerard Pique bakyali mbooko

rmuyimba

February 5th, 2013

No comments

Gerard Pique (ku kkono) ne Montserrat Pique

Gerard Pique (ku kkono) ne Montserrat Pique

Pique family

Montserrat Pique(ku kkono) ne Gerard Pique

BARCELONA

Mwana mulenzi Gerard Pique owa Barcelona ne Spian yeesimye okubeera n’abazadde abamufaako ate nga nabo bakyali mbooko. Pique mutabani wa Joan ne Montserrat Pique, era twafunye omukisa okubalabako bwe baabadde bazze ku ddwaliro lya Teknon Clinic okulaba ku mukamwana waabwe Shakira eyabadde yaakamala okubazaalira omuzzukulu ayitibwa Milan.

Abaabalabye baasigadde beewuunya kubanga balabikira ddala nga bakyali bato mu myaka obutafaananako ne bazadde ba Shakira Nidia Ripoll ne William Mubarak abalabika ng’emyaka gigenda gibawuubira akatambaala.

Ate kirabika bazadde ba Pique balina ne ku ssente eziwerako kubanga bajjidde mu mmotka nsajja ddala, anti baayingiddewo nga banyoola Audi Q7 ebalirwamu obuwumbi 290 (£70,000).

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *