Ebyobusuubuzi

Poliisi ekutte 24 lwakubba masanyalaze

Poliisi ekutte 24 lwakubba masanyalaze

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu district ye Kapchorwa eriko abantu 24 begalidde, oluvanyuma lwekikwekweto ku babba amasanyalaze, nga bageyungako mu bumenyi bwamateeka.

Ekikwekweto kino kikoleddwa aba UMEME nga bakulembeddwamu Cherop Sam ne poliisi, nga kibadde mu bitundu bye Kisenzisenzi, East ne West division mu munispaali ye Kapchorwa.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Sebei Rogers Taitika akaksizza okukwatibwa kwabantu bano, nga bagenda kugulwako emisango oluvanyuma batwalibwe mu kooti.

Kati alabudde abatuuze bewale okubba amasanyalaze kuba tekikoma kuteeka bulamu bwabwe mu kabi, naye nabantu absigadde mu kitundu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *