Ebyobusuubuzi

Okutimba enkalala z’abalonzi kutandise.

Ivan Ssenabulya

April 30th, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe.

E Rukungiri ewagenda okubeera okulonda okw’omubaka  omukyala owa district agavaayo galaga nga okutimba enkalala z’abalonzi bwekutandise leero olwo abalonzi batandike okunoonya amanya gaabwe, ko n’okumanya abaafa , n’abaasenguka.

Entekateeka eno etandise leero, wabula nga yakugendera ddala mu maaso okutuusa nga 9th May 2018, era nga enkalala zino zitimbiddwa mu bifo 280  ewagenda okubeera okulonda.

Gyebuvudeko ssentebe w’akakiiko ek’ebyokulonda Simon Byabakama  yasaba abantu beeno bonna okukeera begenda banoonya amanya gaabwe, nate beewale okutuuka ku nyiriri nga amanya gaabwe tegaliiko.

Kwo okusunsulamu abagenda okuvuganya kutandika nga May 2nd  okutuusa nga  3rd,  ku kitebe kya district e Rukungiri , songa okulonda kwakubaawo nga May 31st 2018.

Kinajukirwa nti ekifo kino kyasigala nga kikalu oluvanyuma  lwa kooti okusazaamu okulondwabwa kwamunna NRM eyali mu kifo kino, n’eragira nti okulonda kudibwemu.