Ebyobusuubuzi

Museveni asabye ababaka bamuwagire ku Banka yabanamakolero

Museveni asabye ababaka bamuwagire ku Banka yabanamakolero

Ivan Ssenabulya

March 15th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni asabye akabondo kababaka bekibiina kya NRM okuwagira ekiteeso kye, okwongera ssente mu banka ekola ku mirimu gyenkulakulana Uganda Development bank.

bwabadde ayogera eri ababaka mu lusirika lwekibiina olugenda mu maaso mu district ye Kyankwanzi, pulezidenti Museveni nga ye sentebbe wekibiina ekiri mu buyinza agambye nti gavumenti yetaaga ssente okwongera mu banka eno, okusobola okuwagira banamakolero, nga babwola wakiri ku magoba wansi 12 %.

kino agambye nti kyakuyamba nnyo banamakolero, obutakolera mu kufiirwa, ngagambye nti gavumenti yakujjyo ssente zaayo eziri mu banka ezebyobusubuzi zonna zitekebwe mu banka eno.

Wano era asabye ababaka bakubirize abantu baabwe okukola okufuna ssente era benyigire nabo mu byenfuna bye gwanga.

Agambye nti bann-Uganda 32% bokka bebali mu byenfuna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *