Ebyobusuubuzi

Gavumenti yakuteesa ku kyokugabanga ettaka eryobwerere

Gavumenti yakuteesa ku kyokugabanga ettaka eryobwerere

Ivan Ssenabulya

March 18th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Entekateeka ya gavumenti okuwanga ba musiga nsimbi ettaka eryobwerere, kirabika kyandikoma.

Gavumenti egamba nti egenda kuteesa ku kuwabula okwkoleddwa omusubuzi Patrick Bitature, bwayabadde ayogerera mu kabondo kababak ba NRM e Kyankwanzi.

Bitature yagambye nti egwanga lifiirwa kubanga bangi babawa ettaka lino nebatalikozesa, wabula nerisigala awo ttayo.

Kati minister avunayizibwa ku bamusiga nsimbi Evelyn Anite akakasizza nti, ekiteeso kino baagenda kukiwa obudde baakiteseeko.