Ebyobusuubuzi

Banabyanfuna bakubye tooki mu bajeti ye gwanga.

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2018

No comments

Bya samuel Ssebuliba.

Government esabiddwa okukola ku nsonga y’etaka, nga tenatandika kuteeka nsimbi mu byakulima, kko n’okubyesigamako nga ebigenda okubulula eby’enfuna bye gwanga

Kinajukirwa nti budget y’omwaka guno ogutandika, kyakanyizibwako nti eby’obulimi bigenda kutekebwamu ensimbi bitandike okuvaamu ebintu eby’okutunda , olwo eby’enfuna biryoke bikule

Bwabadde eyogerera mukubaganya ebirowoozo ku budget eno eyakayisibwa, nga kuno kwategekeddwa aba civil society budget advocacy group, omubaa we  Buliisa Steven Birahwa Mukitale, agambye nti eby’obulimi n’etaka bitambulira kumu, kale nga okufa ku by’okulima byokka n’oleka etaka oba olimba.

Ono agambye nti mukaseera kano ekibba taka kisusse, kale nga kigwana kusooka kukomya.