Ebyobusuubuzi

Abasubuzi b’ente bekalakaasizza e Lukaya

Abasubuzi b’ente bekalakaasizza e Lukaya

Ivan Ssenabulya

March 29th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Abasuubuzi b’ente mu district okuli Mbarara, Lyantonde, Ssembabule ne Mutukula bavudde mu mbeera nebekalakaasa, nga balaga obutali bumativu bwabwe ku nguzi esusse mu bakungu ba gavumenti.
Bano bakiis loole zaabwe mu luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka mu Kabuga ke Lukaya.
Bano obwedda waliwo ofiisa gwebalumiriza nti buli mmotoka etuuka e Lukaya agisolozaako ssente eziri wakati wemitwalo 5 ne 10 okugikkiriza okweyongerayo kyokkanga negyebatikkira ente zino basasula.
Eno gyebasokera baweebwa empapula eziraga nti ziri mu mbeera nnungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *