Ebyobusuubuzi

Abasubuzi batabukidde ab’ekitongole ekiwooza

Abasubuzi batabukidde ab’ekitongole ekiwooza

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ekitongole ekiwooza mu gwanga kiri mu kattu oluvanyuma lwabasubuzi e Mukono okulumiriza abakozi baabwe okubatulugunya.

Bano basinzidde mu lukungaana olwatudde e Mukono olwayitiddwa omubaka wekitundu Betty Nambooze nebemulugunya mu maaso gabakulu ba URA nti babatulugunya.

Bano era bagambye nti nomusolo gwebababinika mungi.

Yye Jamil Ssenyonjo akolanga omwogezi w’ekitongole kino yetonze, olwebikolwa byonna abasubuzi byebatotodde okuli nokubatisatiisa ne mmundu.