Ebyobulamu

Etteeka ku siriimu litankanibwa

Ali Mivule

September 20th, 2013

No comments

HIV victims

Okukubaganya ebiroowozo ku bbago ly’etteeka erikwata ku mukenenya kuzzeemu.

Kino kiddiridde alipoota okuva eri  minisitule y’ebyobulamu okulaga ng’obulwadde bw amukenenya bwebweyongedde ate nga ku luno buli mu bayizi ba University abali mu bisulo.

Minista akola ku mpisa n’obuntu bulamu, Simon Lokodo agamba nti eetteeka lino lyakuyamba okutangira ku bulwadde okubuna

Abawakanya etteeka lino basimbira ekkuuli akawayiiro akaka abantu okwekebeza obulwadde bwa mukenenya

Wabula yye akulira akakiiko akakola ku nsonga za mukenenya mu palamenti, Twatwa agamba nti ebbago lino balyetegereza nga teririimu buzibu bwonna