Ebyobulamu

E Butabika, abasawo batono

Ali Mivule

December 9th, 2013

No comments

Butabika

Ebbula ly’abasawo mu dwaliro lye Butabika lizingamiza emirimu.

Akola ng’akulira edwaliro lino  Dr.Juliet Nakku  agambye nti omuwendo gw’abalwadde ogweyongera buli lukya, ate ng’abasawo batono gutadde edwaliro mu katyabaga.

Dr. Nakku agamba nti wadde nga government yabasubiza okubawa abasawo abalala, wabula kino tekinakolebwa.