Ebyobulamu

Abaana bakugemwa ekirwadde ky’embiro.

Ivan Ssenabulya

May 1st, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses.

 

Ministry ekola  ku by’obulamu etegeezeza nga bwerina entekateeka ez’okutegeka okugema okwekikungo eri abaana bonna abatanaweza myaka etaano okusobola okubatangira  ekirwadde eky’embiro.

Bano bagenda kuweebwa eddagala okusobola okubataasa obuwuka obuleeta obulwadde buno naddala mu baana abato.

Twogedeko n’akulira  ebyokutekateeka mu kitongole ekya a UNEPI  ekikola  ku byokugema abaana nga  ono ye Dr. Bernard Opar n’agamba nti ekirwadde ky’embiro kitta abaana abasoba mu 10,000 buli mwaka

Ono agamba nti edagala lino limazze okutuuka mu gwanga era akadde konna okugema kwakutandika mu banga tono obutasukka mwezi gwamukaaga.