Ebyemizannyo

Ebye Nakivubo bituuse mu palamenti

Ali Mivule

April 1st, 2015

No comments

Nakivubo stadium

Abakubi b’ebikonde n’abantu abalala abegattira mu kibiina  kya Kampala Boxing Club bateekateeka kukwanga palamenti kiwandiiko okulaba nga enonyereza ku bigambibwa nti ekisaawe ky’e Nakivubo webasimbye amakanda kyaweereddwawo eri bamusiga nsimbi.

 

Wiiki eno omukulembeze w’eggwanga y’alagira minisitule y’ebyenjigiriza okukyuusa amanya g’obwananyini bw’ekisaawe kino okudda mu ga musiga nsimbi agenda okukulakulanya ekifo kino azimbewo amaduuka.

 

Akulira giimu ya  Kampala Boxing Club Emmanuel Mwesigwa agamba nti ekisaawe kino kyatekebwawo mu mateeka era kyabyamizanyo sso ssi birala.

 

Bano kati baagala palamenti ebiyingiremu mangu ddala nga ekisaawe kino tekinasanyizibwawo.