Ebyemizannyo

Cranes esitudde

Ali Mivule

August 29th, 2013

No comments

Cranes

Team ye gwanga eya Cranes esitudde emisana ga leero ku nyonyi ya Kenya Airways nabazanyi amakumi 20,okwolekera  egwanga lya Botswana.

Eno  gyebagenda okusamba omupiira ogwomukwano nga tebanagenda Morocco okusamba ne Senegal week ejja.

Mu mpaka ez’okusunsulamu abaneetaba mu za World cup ezigenda okubeera e Brazil omwaka ogujja.

Wabula Fufa ekyalemedwa okufuna ensimbi President Museveni zeyawa team eno okugiyambako ekwetegekera olugendo luno.

Ye Moses Magogo ategezezza nga bwebasisinkanyemu ne gavumenti ku makya era nebasubizibwa okufuna ssente zino enkya kumakya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *