Ebyemizannyo

Abavuga ez’empaka bawummuzibbwa

Ali Mivule

July 3rd, 2013

No comments

Rally cars

Ekibiina ekikulembera omuzannyo gwemotoka zempaka ekya Federation of Motorsport Uganda (FMU) ,olunaku lwa’leero kiyimiriza abavuzi bana (4) okuli Nasser Mutebi,Duncan Mubiru –Kikankane,Geofrey Nsamba ne John Barrows okumala emyaka mukaaga (6yrs) nga tebetaba mumpaka zonna olwobusiwuufu bwempisa.

Okusinziira ku sentebe wa FMU ,George Kagimu ategezezza nti abavuzi bano bamaze enfunda eziwerako nga bediima mumpaka ezenjawulo ezizze zitegekebwa nga kino kitadde omuzanyo guno mumatigga nekifananyi ekibi.
Wabulo bo obogerwako bategezezza nga kino bwekitali kyabenkanya kuba bo basaba kuweebwa ddembe lyaabwe wamu nokuweebwa obukuumi (safety) nga bakola omulimu gwaabwe nga kwotadde nokufunayo kunsako naddala empaka ezakafubutuko eziyitiridde obungi ate nga zetagisa ensimbi nyingi nnyo okwetegeka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *