Amawulire

Uganda egenda kukyaza olukungaana ku mutendera gwensi yonna

Ivan Ssenabulya

February 13th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority kiri mu ketalo okutuuza olukungaana lwamawanga olwamakampuni ageyita agagoberera okuwa omusolo olwomulundi ogwokuna olwa  World Customs Organization Authorized Economic Operator Conference.

Bwabadde atongoza olukungaana luno ku wofiisi zaabwe e Nakawa Commissioner wa URA avunayizibwa ku byamaguzi ebiyingira mu gwanga nokufuluma Dixon Kateshumbwa agambye nti basubira abantu 1000 okuva mu mawanga 169.

Ategezeza nti Mukisa gwamanyi eri Uganda ate nga ekitongole okulaga ebitukiddwako nokuyiga okuva eri abalal.

Olukungaana luno oluli ku mutendera ogwe nsi yonna lwakubaawo okuva nga 14th okutukira ddala nga 16th March ku Cerena Hotel mu Kampala.

WCO AEO organization kibiina ekyatandikibwawo mu mwaka gwa 2012 abawooza, okwagazisa kampuni okuwa omusolo.