Amawulire

Tumukunde awakanyiza ebyava mu kulonda

Tumukunde awakanyiza ebyava mu kulonda

Ivan Ssenabulya

January 21st, 2021

No comments

File Photo : Tumukunde ngali mubyambalo by majje

Bya Ruth Anderah,

Henry Tumukunde, eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga alangiridde nti agenda mu kooti okuwakanya ebyava mu kulonda kwa bonna, okwaliwo nga 14 Janary 2021.

Bino abitegezezza bannamawulire, bwabadde yeyanjudde ku kooti ya City Hall ku misango gye egy’okulya mu nsi olukwe.

Tumukunde agambye nti ali mu ntekateeka ey’okuddukira mu kkooti, kubanga bingi ebimenya amateeka ebyetobeka mu kulonda kuno ne kutaba kwamzima na bwenknaya.

Agambye nti agenda mu kkooti ensukulumu.