Amawulire

Tiimu ya Uganda mu Commonwealth ekomawo leero

Ivan Ssenabulya

April 19th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abaana battu, abakiridde Uganda mu mizannyo gya Common Waelth egya 2018 mu Gold Coast bakomawo olwaeero okuva mu gwanga lya Australia.

Minister owebyenjigiriza nemizannyo era mukomukulembeze we gwanga Janet Kataaha Museveni yaubirwa okwaniriza, abavubuka bano ku kisaawe Entebbe.

Okusionziira ku mawulire getufunye ku ntekateeka eno, ekibinja ekisooka kigenda kutuuka ku ssaawa 7 ne dakiika 50 nga bakutukira mu nyonyi ya Emirates ate abalala okuli Joshua Cheptegei eyakoze ebyafaayo batuuke 8 ne 30 eggulo lya leero.

Ate kitegezeddwa nti Irene Kasubo ne Kalidi Batuusa abaddusi, abamu ku teama eno eyabantu 69 tebagendde kudda, nga kigambibwa nti babuzze.

Uganda yamalidde mu kiffo kya 15th mu mizannyi gino, bweyafunye emidaali 6 nga 3 ku ggyo gya zaabu.