Amawulire

Temuyingirira bannamawuilre

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

Journalists not happy

Gavumenti ewereddwa amagezi okwewala okweyingiza mu mirimu gya banamawulire nga bategeeza eggwanga ekigenda maaso.

Kino kiddiridde  RDC wa Kampala  Mpimbaza Hashaka okuwandikira emikutu gya Radio 2 nga agirabula obutaddamu kukyaaza baludda luvuganya gavumenti bokka nga ayagala na b’oludda lwa gavumenti baweebwe omukisa

Wabula ekibiina ekirwanirira eddembe lya banamawulire ekya  Human Rights Network for Journalists kigamba nti kino kigendereddwamu kutiisatiisa mikutu gya mawulire.

Omukwanaganya w’emirimu mu kibiina kino Robert Ssempala era asabye bannayini mikutu gy’amauwlire obutawoolera ggwanga nga bakkiririza mu bigambo bya Hashaka

Ye  Hashaka agamba kyetaagisa buli ludda okubeerako kyeboogera ku buli mulamw aogubeera ku Radio, TV ova mu lupappula