Amawulire

Tekinologiya yetagisa okulondoola aba zaala

Tekinologiya yetagisa okulondoola aba zaala

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ekitongole ekirondsoola emizannyo gya zaala mu gwanga, National Gaming Board Uganda bagamba nti betaaga obuwumbi 6 nobukadde 400 okulondoola amakampuni, nebibanda bya zaala engeri gyebakolamu emirimu.

Bano bagamba nti abamu balangirira ebibakatako ebikyamu, okusobola okuwa omusolo omutono eri gavumenti.

Kati akaulira ekitongole kino, Janet Namuli alabiseeko eri akakiiko ka palamenti akebyensimbi nategeeza nti betaaga okwongerwa ku nsimbi okusobola okukola obulungi emirimu.

Mu kiseera kino agambye nti basolooza obuwumbi 45 okuva mu bibanda bya zaala, wabulanga balubirirdde okusolooza obuwumbi 70.

Okusinziira ku akulira ebya technologiya nebyuma bi kalimagezi mu kitongole kya National Gaming Board Uganda Denis Mudene Ngabirano, entekateeka eno bajikanyako gyebuvuddeko nekitongole ekiwooza kyomusolo ekya Uganda revenue Authority.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *