Amawulire

Sudhir amezza banka enkulu omusango

Sudhir amezza banka enkulu omusango

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti y’ebyobusubuzi egobye omusango, Bank ye gwanga enkulu ne Crane Bank mwebabadde bavunanira nagagga omusubuzi Sudhir Ruparelia ne kampuni ye eya Meera investment okujjanga ssente mu Crane banka, kybagamba nti kyekyajivirako okugwa.

Ennamula eno ewereddwa omulamuzi David Wangutusi oluvanyuma lw’emyaka 2, eyali nannyini wa Crane Bank, Suhir gyamaze nga yewwuba mu kooti.

Okusinziira ku omulamuzi ono, Bank ya Uganda ne Crane Bank, bawabira Sudhir mu bukyamu kubanga webatwaliira omusangpo mu kooti mu January wa 2017, Crane Bank yali tekyaliwo mu mateeka nga bank enkulu egyedizza, nga baatunda nebyobugagga byabwe eri DFCU Bank wa October wa 2016.

Ennamula esomeddwa omumyuka w’omuwandiisi wa kooti Festo Nsenga, ng’agambye nti kitegeeza nti crane banka teyaliiwo nga teyinza kuwaaba.

Kati Bank ya Uganda enkulu eragiddwa okusasula ensimbi zonna Sudhir ne Meera investments zebasasanyizza mu musango guno, kubanga babawabira mu bukyamu.

Bank ye gwanga enkulu ebadde ayagala kooti ekakake Sudhir ne kampuni ya Meera okusasaula obuwumbi 397, zebagambibwa nti zebajja mu Crane banka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *