Amawulire

St. Lawrence Sonde ly’eryawangudde empaka

St. Lawrence Sonde ly’eryawangudde empaka

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa, Ssaabasajja Kabaka yaggaddewo ekivvulu ky’ennyimba z’amasomero ku mukolo oguyindidde ku Mengo senior secondary school.

Bweyabadde akwasa amasomero agawangudde engule, Ssaabasajja yagabye nti kisanyusa nnyo okulaba nga ekitongole ky’ebyenjigiriza kikomezzaawo ensonga enkulu ekwata ku ngeri abaana gye basomesebwamu.

Wabula yategeezezza nti enteekateeka yonna ey’ebyenjigiriza yandyesigamiziddwa ku kwanukula ebibuuzo bisatu okuli ggwanga lya kika ki lyetusuubira okuzimba,Biki bye tunaasomesa abaana baffe okusobola okuzimba eggwanga lyetuluubirira ne tunaasomesa tutya ebintu ebyo.

Ssaabasajja agambye nti abasomesa n’abazadde bamanyi bulungi nti ensonga ezo nkulu ddala era beetaaga okuzigoberera singa balina omutima ogw’okulaakulanya eggwanga nga bayita mu kuzimba ebitone n’okwagazisa abaana okusoma ebyo ebinaabayamba n’okuyamba eggwanga lyonna okutwalira awamu.
Lubiri High School ly’awangudde engabo ya Kuno kwe kwaffe n’akakadde kamu, ate Lubiri Nnabagereka ne liwangula engabo Ssanyu Lya Buganda n’akakadde ka ssente.
St. Lawrence Sonde lyeriridde mu malala gonna akendo, bano Beene abawadde engabo n’akakadde kamu n’ekitundu
Ate ku mutendera gwa primary, Setlight Quality Primary School lyerisinze.

Ekivvulu kino kibeerawo buli mwaka era amasomero agawerako getabamu negavuganya mu kuzina amazina, okutontoma, okuzannya emizannyo, n’okuyimba.