Amawulire

Ssemujju atadde Gavt kunninga kunsimbi za Covid

Ssemujju atadde Gavt kunninga kunsimbi za Covid

Ivan Ssenabulya

July 19th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Omubaka wa Kira Municipaali mu lukiiko lweggwanga olukulu, Ibrahim Ssemuju Nganda atadde gavumenti kunninga eveeyo ewe embalirira kunsimbi zonna ezigiweereddwa mu kulwanyisa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe bweba palamenti nga yakukakasa ensimbi endala zebagala.

Ono okwogera bino nga gavumenti yakateekayo okusaba okugya mu palamenti nga yetaaga akasse kamu nobuwumbi 300 okwongera amaanyi mu ntekateeka eyokulwanyisa ekirwadde kya Covid-19.

Wabula Ssemujju agamba nti nénsimbi ezayisibwa palamenti mu mwaka gwe byensimbi oguwedde tezakozesebwa bulungi

Yye ssabaminisita Robinah Nabanja wakwogerako eri palamenti ku lwokusatu lwa ssabaiiti eno okulaga gavumenti wetuuse mu kulwanyisa ekirwadde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *