Amawulire

Ssekandi awabudde Alupo amudidde mu bigere

Ssekandi awabudde Alupo amudidde mu bigere

Ivan Ssenabulya

June 23rd, 2021

No comments

Bya Jualiet Nalwooga

Abadde omumyuka womukulembeze we’gwanga Owek. Edward Ssekandi awabudde munne amudidde mu bigere Jessica Alupo, nti asaaanye okubeera omuwulize eri omukulembeze we’gwanga.

Bwabadde ayogera ne bannamulire ku mukolo ogwokuwaayo wofiisi, Ssekandi agambye nti ssemateeka we’gwanga annyonola bulungi ku mirimu nobuvunanyizbwa bwekifo kyomumyuka womuklembeze we’gwanga.

Agambye nti atekeddwa okulaga okubeerawo kwomukulembeze we’gwanga mu butabeera wo bwe ateng alina nokwewala ennyombo naye.

Ssekandi kinajjukirwa nti yawereza mu kifo kya sipiika wa palamenti okumala emyaka 10 weyava okumulondsa okubeera omumyuka womukulembeze we’gwanga.

Wofiisi eno nayo ajituddemu okumala emyaka 10.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *