Amawulire

Ssabasumba bagenda kumuziika munda mu lutikko

Ssabasumba bagenda kumuziika munda mu lutikko

Ivan Ssenabulya

April 7th, 2021

No comments

Bya Basasi Baffe

Ku lutikko e Lubaga, ketalo wakati mu ntekateeka zokuziika abadde Ssabasumba we’ssaza erye Kampala Dr. Cyprian K. Lwanga.

Kitegezeddwa nti Dr. Lwanga bagenda kumuziika munda mu lutikko, wakati wamalaalo gabaali abawereza Dr. Joseph Kiwanuka ne Bishop Edward Michaud.

Abekitongole kya Uganda Funeral Services bebali mu ntekateeka.

George William Katende, omuwereza ku lutikko e Rubaga ategezezza banaffe aba Daily Monitor nti abasumba nabawereza abafiira ku mulimu bebaziika munda.

Kinajjukirwa nti Dr. Kiwanuka yeyali Ssabasumba okuva mu 1961 nga yafa mu 1966 atenga Bishop Michaud yali vicar we Tabora mu gwanga lya Tanzania gyebamujja okumusindika e Uganda mu 1932. Ono oluvanyuma yafa mu 1945.

Mungeri yeemu abekiggwa kyabajulizi e Namugongo baongedde ku mugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga ngomuntu omukozi ateera abadde awereza Katonda we mu mazima nobwesimbu.

Rev Father Vincent Lubega bwanamukulu wekigo kye Namugongo agambye nti akoze ne Ssabasumba Lwanga okumala ebbanga naddala mu mwaka gwa 2015 kumulimu gyokudabiriza ekifo kino.

Agambye nti ebimu byamujjukirako bwebukozi nokwewaayo, ku mirimu.

Olunnaku lwaleero, omubiri gwomugenzi gugenda kutwalibwa ku kiggwa e Namugingo, nga wategekeddwayo mmisa amakya ga ga leero.

Olunava eno, gwakutwalibwa ku lutikko e Lubaga. 

Kati gyegimu ku mirimu gyekoze, egigenda okusigalawo okumujjukirwako:

  • Yamaliiza Mapeera house
  • Yatandikawo obegassi bwa Wekembe Women’s Empowerment SACCO
  • Yazimba Cyprian Kyabakadde P/S ne Secondary
  • Yadabiriza ekitebbe kye ssaza ekkulu erye Kampala
  • Yadabiriza kkereziya ya lutikko e Rubaga
  • Yadabiriza Pope Paul Memorial Hotel
  • Yazimba ekitebbe kye ssaza lye Kasana Luwero
  • Yadabiriza amalwaliro okuli erye Nkozi, Nsambya ne Kisubi
  • Yatandika ku mulimu gwokuzimba St. Paul’s University Ggaba
  • Yatandika ekibiina kyobwegassi ekyabavubuka, Youth Association Baana-ba-kizito
  • Yadabiriza amaka ga Mapeera Bakateyamba mwebalera abakadde
  • Yasimba emiti, nemirimu emirala.