Amawulire

Ssabalabirizi alabudde ku njawukana

Ssabalabirizi alabudde ku njawukana

Ivan Ssenabulya

April 19th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Ruth Anderah ne Ritah Kemigisa

Abakulisitaayo basabiddwa okukozesa olunnaku lwa leero Olwokutaano olutukuvu oba Good Friday ne kkubo lyomusalaba, ngakabomero akobumu, mu njawukana zebalina nabantu abenjawulo.

Buno bwebbadde obubaka bwa Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda, mu kusaba kwe kkubo lyomusalaba okubadde ku kasozi Kampala mukadde.

Eno abakristaayo okuva mu madiini agenjawulo gyebakunganidde, oluvanyuma lwe kkubo lyomusalaba mu Kampala.

Ssabalabirizi alaze okutya nti ssinga abantu banalemererwa, okwegatta nokutambulira awamu katybaga kamaanyi akayinza okuviramu abantu okuttingana.

Akti era agambye nti akabnonero ka Yesu okukomererwa ku musala, kawa omwana womuntu essuubi.

Okusaba kuno kwategekeddwa wansi wekibiina ekitaba enzikiriza zabakulisitaayo, Ugnda Joint Christian Christian.

Mu kusooka wabaddewo ekkubo lyomusalaba mu, ngabakiriza batambudde nebatukako mu bifo ebyenajwulo, mu kujjukira Yesu byeyayitamu, n’omusalaba ngayokera ku Lusozi Gologoosa gyebamukomerera.