Amawulire

Sipiika alagidde kuby’eddubu eryasse omukazi

Sipiika alagidde kuby’eddubu eryasse omukazi

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2021

No comments

Amyuka omukubiriza wa palamenti Anita Among alagidde minisita webyobulambuzi, okugenda mu disistulikiti ye Amuru mu kitundu kya Kilak South bajje ensolo, okuli eddubu nenjovu mu bantu.

Ebisolo bino kitegezeddwa nti bitandise okutta abantu nokusanyawo emmere yaabwe, era bangi kati basula ku maggwa.

Kino kyadiridde omubaka wa Kilaaka, Gilbert Oulanya okutuusa okwemulugunya kwe eri palamenti, nga yagambye nti ebisolo bino byatta omukazi wiiki 2 emabega atenga byonoonye namayumba gabatauuze agawera 1000.

Omubaka Oulanya yagambye nti ebisolo bino byatoloka kuva mu kkumiro lyebisolo erya Murchison Falls National Park.

Kati sipiika Among alagidde minisita webyobulambuzi Tom Butime ensonga eno okujikwatako nobwangu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *