Amawulire

Pulezidenti Museveni alabudde Sejusa

Ali Mivule

October 2nd, 2013

No comments

m7

Pulezidenti Museveni  alangiridde Gen David Sejusa mu lubu lw’abajaasi abasuulawo emirimu gyaabwe era wakukolwaako ng’amateeka bwegalagira

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu maka ge e Nakasero, pulezidenti agambye nti Sejusa alekere awo okwogerera gy’ali bw’aba musajja.

Ono agamba nti kimenya mateeka munnamaggye yenna okusuulawo emirimu gye era ng’agamba wakukolebwaako

President era agambye mwetegefu okufafagana ne Sejusa ssinga kamutanda n’agezaako okuvuunika gavumenti