Amawulire

Poliisi yakuzikulayo omulambo gwa Ssenteza

Poliisi yakuzikulayo omulambo gwa Ssenteza

Ivan Ssenabulya

December 29th, 2020

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliisi ya Uganda ategezezza nga bwetandise ku ntekateeka okuzikulayo omulambo gwomugenzi Francis Senteza abadde amanyiddwa nga Frank, omukuumi wa Robert Kyagulanyi eyafudde ku Sunday

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga mu kiwandiiko kyafulumizza, agambye nti bagala okunonyereza kwabwe kutuuke ku buli nsonga.

Abekibiina kya NUP balumirirzza amagye ge gwanga nti mmotoka yaabwe yeyatomedde Frank nemutta e Busega, atenga amagye ge gwanga bagamba nti yawanuse ku mmotoka eyabadde ewenyuka obuweewo nafa.

Wabula Enanga agambye nti ngabali mu kunonyereza batataganyiziddwamu, oluvanyuma lwokuba nti omugenzi Frank yazikiddwa olunnaku lwe ggulo mu distulikiti ye Kalungu, awatabadde kukola alipoota ku nfa ye.

Enanga agambye nti abeddwaliro lye Rubaga bawaddeyo omulambo eri abenganda nekibiina kya NUP awatabadde alipoota ku nfa ye.

Ono era agamba nti bagaanye okutwala omulambo mu gwanika lya gavumenti e Mulago okugwekebejja.

Mungeri yeemu eyesimbyewo ku bukulembeze bwe gwanga Robert Kyagulanyi ayanukudde ku ntekateeka ya poliisi okuzikula omulambo gwomugenzi Frank Senteza, abadde omukuumi we.

Aba NUP bongedde okulumiriza abamagye okutomera omugenzi nebamutta.

Kati mu kiwandiiko Kyagulanyi kyafulumizza, agambye nti abeddwaliro lyeLubaga bafulumizza alipoota ku nfa yomugenzi.

Agambye nti ebifnayi ebyavudde mu x-ray byalaze engeri akawanga ka Frank gyekamenyese.

Kyagulanyi era awakanyizza ebigambibwa bagaanye okutwala omulambo e Mulago, kubanga kyakanyiziddwako naba famile yomugenzi nti waberewo okusaba ku kitebbe kyekibiina e Kamwokya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *