Amawulire

Poliisi ekutte 13 abagambibwa okubba ebintu bye Ggaali yómukka

Poliisi ekutte 13 abagambibwa okubba ebintu bye Ggaali yómukka

Ivan Ssenabulya

April 3rd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Poliisi mu kitundu ky’olusozi Elgon eriko abantu 13 betadeko obunyogoga lwakubba bintu bye ggaali yomukka.

Abamu kubakwate basirikale ba poliisi nomusirikale mu ggye lya updf

Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kino Rogers Taitika,abakwate basangibwa ne mitayibwa gya rail ne bintu ebirala ebibalirirwamu obukadde 138.

Poliisi egamba nti abakwate bandiba nga bebabadde emabega wobubbi obukolebwa ku bintu bye ggaali yomukka mu West Nile, Pakwachi.

Taitika atubuulidde nti abakwate bateredwako emisango gyobubbi era essaawa yonna bakusimbibwa mu mbuga za mateeka

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *