Amawulire

Poliisi egaanye Mbabazi enkungaana

Ali Mivule

October 31st, 2015

No comments

Poliisi eyisizza ekiragiro ekiyimiriza eyali ssabaminista Amama Mbabazi okukuba enkungaana mu kibuga ng’amaze okuwandiisibwa okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga ku bbalaza

Ssenkaggale wa poliisi agambye nti okusaba kwa Mbabazi eri KCCA okukuba olukungaana mu kibuga tekuggya kukkirizibwa.

Kaihura agambye nti etteeka erirambika enkungaana likirambika bulungi nti poliisi erina okutegeezebwa kyokka nga yye Mbabazi yakomye kutegeeza KCCA.

Kaihura agambye nti n’ekirala ab’ekibiina kya NRM bategeeza dda nga bwebalina ebikujjuko ebitali bimu mu kibuga kale nga tebasobola kukkiriza Muntu mulala.

Mbabazi wakuwandiisibwa ku bbalaza amangu ddala nga Museveni avuddewo.