Amawulire

Police yeddizza eby’okwerinda

Police yeddizza eby’okwerinda

Ali Mivule

August 15th, 2013

No comments

heavy deployment

E Makerere police yedizza ebyokwerinda ku tendekero lino nga kino kidiride okugalwawo akawungeezi akayise .

Adumira poliisi mu kampala n’emirirano  Andrew Felix Kaweesi wano era walabulidde akulira abayizi be tendekero lino ,obutagezaako kukunga bayizi banne kwekalakaasa okutabangula atendekero.

Kaweesi Agamba poliisi ssi yakukiriza bantu balala kuyingira munda ,okugyako abakola mu zibank eziri munda, abalongoosa nabakulira ettendekero lino.

Wabula ategeezeza nti abayizi abapya bakukeberebwa buli ayingira ,era babekenenye  neku mande ya wiiki eggya nga bakimye amabaluwa agabakakasa okusomera mu tendekero lino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *